Okutonda
- Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi.- Olubereberye 1:1
- Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ekibuuka kibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu.- Olubereberye 1:20
- Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo: Katonda n'alaba nga birungi.- Olubereberye 1:21
- Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali.- Olubereberye 1:24
- Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi.- Olubereberye 1:26
- Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda.- Olubereberye 1:27
- Mukama Katonda n'abumba omuntu, n'enfuufu y'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu; omuntu n'afuuka omukka omulamu.- Olubereberye 2:7
- kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.- Okuva 20:11
- Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira: Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola. Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?- Yobu 12:7-9
- Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.- Yobu 37:5
- Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente. Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo. Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu. Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.- Yobu 40:15-18
- Obukiika obwa kkono n'obwa ddyo wabutonda: Taboli ne Kerumooni zisanyukira erinnya lyo.- Zabbuli 89:12
- Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.- Zabbuli 90:2
- Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa; Era ofuula obuggya amaaso g'ettaka.- Zabbuli 104:30
- Bitendereze erinnya lya Mukama: Kubanga yalagira, ne bitondebwa.- Zabbuli 148:5
- Bw'atyo bw'ayogera Katonda, Mukama eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako:- Isaaya 42:5
- Nze mmumba omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna.- Isaaya 45:7
- Nakola ensi ne ntondera abantu mu yo: nze, engalo zange, nabamba eggulu, n'eggye lyalyo lyonna nze naliragira.- Isaaya 45:12
- Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.- Isaaya 45:18
- Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.- Isaaya 65:17
- Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe?- Malaki 2:10
- Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi.- Makko 10:6
- Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityo kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, so teziriba.- Makko 13:19
- Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.- Yokaana 1:3
- Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa. Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala, ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina amagulu ana n'eky'ebyewalula. Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka: kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina.- Abaruumi 1:20-25
- Kubanga okutunuulira ennyo okw'ebitonde kulindirira okubikkulirwa kw'abaana ba Katonda. Kubanga ebitonde byateekebwa okufugibwa obutaliimu, si lwa kwagala kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisa, mu kusuubira nti era n'ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.- Abaruumi 8:19-22
- era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja:- 1 Abakkolinso 11:9
- Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.- Abaefeeso 2:10
- kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe;- Abakkolosaayi 1:16
- Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu, okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo- Abakkolosaayi 2:8
- ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda:- Abakkolosaayi 3:10
- nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.- 1 Timoseewo 4:3
- Era nti Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo:- Abaebbulaniya 1:10
- Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika. Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo. Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika.- Abaebbulaniya 11:1-3
- nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa. Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda, ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira:- 2 Peetero 3:3-6
- Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, - Okubikkulirwa 3:14
- Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.- Okubikkulirwa 4:11
- n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:- Okubikkulirwa 10:6
- Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.- Okubikkulirwa 14:6-7