Amaanyi
- Era munaaweerezanga Mukama
Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo
endwadde wakati wammwe<Okuva Exodus 23:25
- Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya: ku Iunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama.- 2 Bassekabaka 2 Kings 20:5
- Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama ow'eggye ng'ali naye.- 1 Ebyomumirembe 1 Chronicles 11:9
- Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo!- Zabbuli Psalms 21:1
- Yakusaba obulamu, n'obumuwa; Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe.- Zabbuli Psalms 21:4
- Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna: Omusanyusa essanyu mu maaso go.- Zabbuli Psalms 21:6
- Akuuma amagumba ge gonna: Linnaago erimu terimenyeka.- Zabbuli Psalms 34:20
- Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.- Zabbuli Psalms 71:17, 18
- Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.- Zabbuli Psalms 112:7
- Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;- Zabbuli Psalms 144:12
- Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala- Engero Proverbs 3:23
- Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi.- 3 John 1:2
- Dawudi n'agamba Sulemaani mutabani we nti Ba n'amaanyi ogume omwoyo, okikolenga: totyanga so totekemukanga: kubanga Mukama Katonda, Katonda wange, ali naawe: taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama lwe gulituukirira.- 1 Ebyomumirembe 1 Chronicles 28:20
- wamu naye waliwo omukono ogw'omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe. Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.- 2 Ebyomumirembe 2 Chronicles 32:8
- Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.- Zabbuli Psalms 8:2
- Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo. Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga... Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange.- Zabbuli Psalms 18:29, 30, 32
- Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi: Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe.- Zabbuli Psalms 20:7
- Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu.Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama.- Zabbuli Psalms 27:13, 14
- Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.- Zabbuli Psalms 28:7, 8
- Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama: Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku.- Zabbuli Psalms 37:39
- Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.- Zabbuli Psalms 73:26
- Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe...Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.- Zabbuli Psalms 84:5, 7
- Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.- Zabbuli Psalms 119:28
- Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina kintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kuba nga kibuyaga akunta ku kisenge.- Isaaya Isaiah 25:4
- Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.- Isaaya Isaiah 40:29
- totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.- Isaaya Isaiah 41:10
- Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.- Matayo Matthew 19:26
- Kale tunaayogera tutya ku ebyo? Katonda bw'abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani?- Abaruumi Romans 8:31
- si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 3:5
- (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 10:4
- N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 12:9, 10
- abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda:- Abaefeeso Ephesians 3:16
- Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.- Abaefeeso Ephesians 6:10
- Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.- Abafiripi Philippians 4:13
- Mmwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula: kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi.- 1 Yokaana 1John 4:4
- Mukama Katonda ow'eggye kyava ayogera nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano okuba enku, era gulibookya.- Yeremiya Jeremiah 5:14
- Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.- Zechariah 10:12
- Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe.- Matayo Matthew 10:20
- Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.- Ebikolwa Acts 1:8
- Awo bwe baalaba obugumu bwa Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo, ne beewuunya, ne babeetegereza nga baali wamu ne Yesu.- Ebikolwa Acts 4:13
- Kubanga ekigambo eky'omusaalaba bwe busirusiru eri abo ababula; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda.- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 1:18
- N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeeza kw'Omwoyo n'amaanyi:okukkiriza kwammwe kulemenga okubeera mu magezi g'abantu, wabula mu maanyi ga Katonda.- 1 Abakkolinso 1 Corinthians 2:4, 5