Okuwonyezebwa n’Obulamu


  • Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna. - Zabbuli Psalms 34:19
  • Waliwo mu mmwe omuntu alwadde? ayitenga abakadde b'ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Mukama waffe:n'okusaba kw'okukkiriza kulirokola omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako.Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo. - Yakobo James5:14-16
  • Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe.- Zabbuli Psalms 107:20
  • Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya: ku lunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama. - II Kings 20:5
  • Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atanoonya. - Yeremiya Jeremiah 30:17
  • Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. - Isaaya Isaiah 40:29
  • Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna; - Zabbuli Psalms103:3
  • Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya. - Isaaya Isaiah 53:5
  • n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya. - Okuva Exodus 15:26
  • Bwe yabalaba n'abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. - Lukka Luke 17:14
  • N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna. - Matayo Matthew 10:1
  • Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo. - Malaki Malachi 4:2
  • Peetero n'amugamba nti Ayineya, Yesu Kristo akuwonya: yimirira, weeyalire. Amangu ago n'ayimirira. - Ebikolwa Acts 9:34
  • Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya;banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga. - Makko Mark 16:17-18
  • era mukubirenga ebigere byammwe amakubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi. - Abaebbulaniya Hebrews 12:13
  • N'olw'obukulu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulilbwa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze. - 2 Abakkolinso 2 Corinthians12:7-9
  • Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira. Zabbuli Psalms 22:24
  • Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, Mwenna abasuubira mu Mukama. Zabbuli Psalms 31:24
  • Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna. Zabbuli Psalms 34:19
  • Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna; Zabbuli Psalms 103:3
  • Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe. Zabbuli Psalms 107:20
  • Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza. Zabbuli Psalms 119:50
  • Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa. Zabbuli Psalms 119:92
  • Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri. Zabbuli Psalms 119:107
  • Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe. Zabbuli Psalms 147:3
  • Awa amaanyi abazirika; n'oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. Isaaya Isaiah 40:29
  • Laba, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n'okuyinza ne gutayinza kulokola; so n'okutu kwe tekumuggadde n'okuyinza ne kutayinza kuwulira: Isaaya Isaiah 59:1
  • Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri: waliwo ekigambo kyonna ekinnema? Yeremiya Jeremiah 32:27
  • Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n'ebya ssava n'eby'amaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n'omusango. Ezekyeri Ezekiel 34:16
  • Naye Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti Mwana wange, guma omwoyo; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Omukazi n'awona okuva mu kiseera ekyo. Matayo Matthew 9:22
  • Awo olwatuuka ku lunaku lumu mu ezo, yali ng'ayigiriza; n'Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: namaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya. Lukka Luke 5:17