Okugaba
- Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.- Matayo Matthew 10:8
- Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola.- Engero Proverbs 3:27
- mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa.- Lukka Luke 6:38
- Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala,era omu ku mmwe bw'abagamba nti Mugende n'emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde.- Yakobo James 2:15-17
- Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini. - Engero Proverbs 11:24, 25
- Akusabanga omuwanga omuntu bw’ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega.- Matayo Matthew 5:42
- Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuIuza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.- Ekyamateeka Deuteronomy 15:11
- Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna: Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.- Engero Proverbs 3:9, 10
- Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa. Engero Proverbs 21:13
- Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.- Malaki Malachi 3:10
- Naye ggwe, bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo bye gukola:okugaba kwo kubeerenga kwa kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. Matayo Matthew 6:3, 4
- Ne Kabaka aliddanu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.- Matayo Matthew 25:40
- Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi: nga bwe kyawandiikibwa nti Yasasaanya, yagabira abaavu Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna,Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 9:6-12
- Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa. -
Matayo Matthew 10:8 -
Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola. -
Engero Proverbs 3:27 -
mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa. -
Lukka Luke 6:38 -
Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala,era omu ku mmwe bw'abagamba nti Mugende n'emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, wokka nga kufudde. -
Yakobo James 2:15-17 -
Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini. -
Engero Proverbs 11:24, 25 -
Akusabanga omuwanga omuntu bw’ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega. -
Matayo Matthew 5:42 -
Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuIuza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo. -
Ekyamateeka Deuteronomy 15:11 -
Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna:Amawanika go bwe ganajjulanga bwe garyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu. -
Engero Proverbs 3:9, 10 -
Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa.
Engero Proverbs 21:13 -
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya. -
Malaki Malachi 3:10 -
Naye ggwe, bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga okumanya ogwa ddyo bye gukola:okugaba kwo kubeerenga kwa kyama: kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. Essaala ya Mukaka waffe
Matayo Matthew 6:3, 4 -
Ne Kabaka aliddanu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze. -
Matayo Matthew 25:40 -
Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:aga bwe kyawandiikibwa nti Ye asasaanya, yagabira abaavu Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna,Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo ekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda; -
2 Abakkolinso 2 Corinthians 9:6-12