Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Olunaku olulungi! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd3/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
"Era bwe musabanga, temubanga nga bannanfuusi: kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne ku mabbali g'enguudo, era abantu babalabe. Mazima mbagamba nti Bamaze abo okuweebwa empeera yaabwe. Naye ggwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.
- Matayo 6:5-6

Day 2
"Mumukuze Mukama wamu nange, Tugulumize erinnya lye fenna. Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna.
- Zabbuli 34:3-4

Day 3
"Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi:
- Engero 3:5-7

Day 4
"Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.
- Isaaya 65:24-25

Day 5
"mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna. Abaagalwa, omutima bwe gutatusalira kutusinga, tuba n'obugumu eri Katonda; era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.
- 1 Yokaana 3:20-22

Day 6
"Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.
- 1 Abakkolinso 6:12

Day 7
"Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama.
- Isaaya 59:19

Day 8
"Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde: sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.
- Makko 2:17

Day 9
"Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.
- Olubereberye 2:23-24

Day 10
"Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera. Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza. Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye: -
- Yokaana 1:10-12

Day 11
"Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe. Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula. Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi: Ebitasaana tebiituulenga gy'oli.
- Zabbuli 5:2-4

Day 12
"Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.
- Nekkemiya 8:10

Day 13
"Tewali mutukuvu nga Mukama; Kubanga tewali mulala wabula ggwe: So tewali lwazi oluliŋŋanga Katonda waffe. Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.
- 1 Samwiri 2:2-3

Day 14
"Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.
- Matayo 22:37-39

Day 15
"Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonna n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna, ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba; galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu
- 2 Peetero 2:1-2

Day 16
"Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba. Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma. Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.
- Zabbuli 119:128-130

Day 17
"Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.
- Abaebbulaniya 2:14-15

Day 18
"Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
- Abafiripi 3:13, 14

Day 19
"Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.
- Yokaana 8:12

Day 20
"Toyogeranga nti Ndisasula obubi: Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga.
- Engero 20:22

Day 21
"Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.
- Yokaana 15:4-5

Day 22
"Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri. Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essaayu lifuuke okunakuwala. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
- Yakobo 4:8-10

Day 23
"Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
- Abaruumi 10:17

Day 24
"Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika. Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo. Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika.
- Abaebbulaniya 11:1-3

Day 25
"He staggered not at the promise of God through unbelief; but was strong in faith, giving glory to God; And being fully persuaded that, what he had promised, he was able also to perform.
- Abaruumi 4:20, 21

Day 26
"Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo. Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu: Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
- Zabbuli 36:8-9

Day 27
"Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga? Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.
- Yokaana 8:10, 11

Day 28
" Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.
- Abaruumi 15:13