Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Olunaku olulungi! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd3/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
"Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda. Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.
- Abaruumi 14:11-12

Day 2
"Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa. Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
- Engero 16:5-6

Day 3
"n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana, nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.
- Abaefeeso 4:2-3

Day 4
"Munjoleke effeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera eddinaali. N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko by'ani? Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.
- Matayo 22:19-21

Day 5
"Abawulira mmwe, ng'awulira nze; era anyooma mmwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma.
- Lukka 10:16

Day 6
"Buli mukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye.
- Engero 14:1

Day 7
"Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga. Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.
- Yakobo4:7-8

Day 8
" Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo. Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye. -
- Ebikolwa16:31-32

Day 9
"Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi.
- Matayo 7:24-25

Day 10
" okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa: gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa:
- 1 Peetero 1:7-8

Day 11
"Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe.
- Yokaana 15:11-12

Day 12
"Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
- Abaruumi 8:38,39

Day 13
"Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro. Musirike mumanye nga nze Katonda: Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi.
- Zabbuli 46:9-10

Day 14
"Nze Mukama so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze: ndikusiba olukoba, newakubadde nga tommanyanga: balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze: nze Mukama so tewali mulala.
- Isaaya 45:5-6

Day 15
"Naye abawombeefu balisikira ensi: Era banaasanyukiranga emirembe emingi
- Zabbuli 37:11

Day 16
"Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola..
- Isaaya 35:4

Day 17
"Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge.
- Zabbuli 42:5

Day 18
"Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe. Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.
- Matayo 6:14-15

Day 19
"Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire: Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.
- Zabbuli 66:18,19

Day 20
"Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.
- Matayo 25:40

Day 21
"Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.
- Isaaya 53:5

Day 22
"kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.
- Okuva 20:11

Day 23
"Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.
- 2 Timoseewo 2:2

Day 24
"Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.
- Oluyimba lwa Sulemaani 12:13

Day 25
"Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe. Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
- Zabbuli 56:3,4

Day 26
"N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga.
- Olubereberye 3:16

Day 27
"Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? kubanga ebikolwa bye byali bibi n'ebya muganda we bituukirivu.
- 1 Yokaana 3:11-12

Day 28
"temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda:
- Abakkolosaayi 3:9-10

Day 29
"Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange; Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako. Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:
- Engero 3:1-3

Day 30
"Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi: Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe..
- Zabbuli 20:7