Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Olunaku olulungi! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd3/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
"Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru. Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna.
- Yokaana 12:31-32

Day 2
"Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
- Zabbuli 40:4

Day 3
"Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
- Engero 3:5,6

Day 4
"Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.
- Isaaya 65:24

Day 5
"Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essaayu lifuuke okunakuwala.Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
- Yakobo 4:8-10

Day 6
"Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.
- 1 Abakkolinso 6:12

Day 7
"Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama.
- Isaaya 59:19

Day 8
"Tewali mutukuvu nga Mukama; Kubanga tewali mulala wabula ggwe: So tewali lwazi oluliŋŋanga Katonda waffe.Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.
- 1 Samwiri 2:2-3

Day 9
"Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.
- Olubereberye 2:24

Day 10
" Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo;ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu.-
- Okubikkulirwa 12:7-8

Day 11
"Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubanga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
- Matayo 19:14

Day 12
"Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula.
- Zabbuli 5:3

Day 13
"Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna;
- 1 Peetero 2:11

Day 14
"Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu.
- 2 Yokaana 2:6

Day 15
"Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba nti Mwenenye; kubanga okwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
- Matayo 4:17

Day 16
"Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala.
- Zabbuli 119:130

Day 17
"Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
- Yokaana 1:12-13

Day 18
"Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo.
- Abakkolosaayi 2:16-17

Day 19
"Omuyigiriza ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwaNaye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. N'e'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.
- Matayo 22:36-40

Day 20
"muyige okukolanga obulungi; mugobererenga eby'ensonga; mudduukirirenga ajoogebwa, musalenga omusango gw'atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu.
- Isaaya 1:17

Day 21
" Buli akuuma akamwa ke n'olulimi lwe Akuuma emmeeme ye obutalaba nnaku.
- Engero 21:23

Day 22
"naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,
- Abaruumi 4:20, 21

Day 23
"kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami;alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
- 1 Timoseewo 6:15-16

Day 24
"Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.
- Abaebbulaniya 11:1

Day 25
"Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna;
- 2 Abakkolinso 1:3

Day 26
"Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
- Zabbuli 5:11

Day 27
"Amawanga gonna gali nga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.
- Isaaya 40:17

Day 28
"era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.
- 1 Yokaana 3:22

Day 29
" Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
- Abaruumi 10:17