Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Have a nice day! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd2/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
"Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.
- 2 Wathesalonike 3:16

Day 2
"Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu, abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
- Waebrania 13:20-21

Day 3
"nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, era naakwatanga ku mukono gwo era naakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga; okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.
- Isaya 42:6-7

Day 4
"N'abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.
- Luka 12:15

Day 5
"Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga KitafFe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero. Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda? Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.
- Yohana 6:27-29

Day 6
"Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, ne tujja okumusinza.
- Mathayo 2:1-2

Day 7
" Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu ye? era bwe kityo n'ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda. Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwa.
- 1 Wakorintho 2:11-12

Day 8
"tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba; naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo;
- Waefeso 4:14-15

Day 9
"Era kyenva mbonaabona bwe ntyo: naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli.
- 2 Timotheo 1:12

Day 10
"nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo; eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
- Tito 2:13-14

Day 11
"Era nti Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo:
- Waebrania 1:10

Day 12
"Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe. Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
- Yohana 7:37-39

Day 13
"Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera kabona gye ndi: kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.
- Hosea 4:6

Day 14
"Nga bwe kyawandiikibwa nti Tuttibwa obudde okuziba, okutulanga ggwe: Twabalibwa ng'endiga ez'okusalibwa. Naye mu ebyo byonna tuwangudde n'okukirawo ku bw'oyo eyatwagala.
- Romans 8:36-37

Day 15
"Naayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
- Zaburi 104:33

Day 16
"N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu ky'alina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.
- Matendo ya Mitume 4:32

Day 17
"Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye; n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu.
- Wakolosai 1:19-20

Day 18
"Kubanga tumanyi ng'ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano. Era si ekyo kyokka, naye era naffe, abalina ebibala ebibereberye eby'Omwoyo, era naffe tusinda munda yaffe, nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw'omubiri gwaffe.
- Warumi 8:22-23

Day 19
"Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira. Kuba singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze. Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?
- Yohana 5:45-47

Day 20
"Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi. Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.
- Zaburi 71:20-21

Day 21
"Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka; mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi,
- Wafilipi 2:14-15

Day 22
"Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.
- 2 Peter 3:13

Day 23
"Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.
- Yakobo 1:25

Day 24
" Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo. N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.
- Yohana 1:50-51

Day 25
"kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
- 1 Wakorintho 13:7-8

Day 26
"Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusirusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe. Olaba omuntu ow'amagezi mu kulowooza kwe ye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
- Mithali 26:11-12

Day 27
"Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.
- Luka 21:36

Day 28
"Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi yaabo, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye.
- Marko 6:4

Day 29] ="Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka: Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi. Muweereze Mukama n'okutya, Era musanyuke n'okukankana. Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.
- Zaburi 2:10-12

Day 30
"Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi. Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne;
- Warumi 12:9-10

Day 31
"Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluyannyuma abatalina kigambo kya kukola ekisingawo. Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga.
- Luka 12:4-5