Verse of the Day
[Copy and send from here:]
Verse of the day:
Olunaku olulungi! 🙂
https://www.wordproject.org/bibles/votd3/index_lug.htm
Verses of the month [Sample]
Day 1
"Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda. Laba, ndikola ekigambo ekiggya kaakano kirirabika; temulikimanya ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.
- Isaaya 43:18-19
Day 2
"Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.
- 2 Abakkolinso 5:17
Day 3
"omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo. Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama.
- Isaaya 55:7-8
Day 4
"Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu. Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye; Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama. Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye; Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
- Yobu 23:10-12
Day 5
"Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika.
- Abaebbulaniya 11:3
Day 6
"Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.
- Matayo 2:11
Day 7
"kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami; alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
- 1 Timoseewo 6:15-16
Day 8
"Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyobr>- 1 Yokaana 4:8-9
Day 9
"Mukama ye musumba wange; seetaagenga: Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto: Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu. Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye.
- Zabbuli 23:1-3
Day 10
"Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama.
- Ebyabaleevi 19:18
Day 11
"Katonda ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakemebwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga. Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe? Katonda kye kigo kyange eky'amaanyi: Era aluŋŋamya eyatuukirira mu kkubo lye.
- 2 Samwiri 22:31-33
Day 12
"Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuluza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.
- Ekyamateeka 15:11
Day 13
"n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya.
- Okuva 15:26
Day 14
"So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga nze Mukama Katonda wammwe. Kye munaavanga mukola amateeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe. Era ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga okukkuta, ne mutuula omwo mirembe.
- Ebyabaleevi 25:17-19
Day 15
"N'abagamba nti Ettabaaza ereetebwa okuteekebwa munda w'ekibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo? Kubanga tewali kikwekebwa, naye kirimanyibwa; newakubadde ekyakisibwa, naye kirirabika lwatu.
- Makko 4:21-22
Day 16
"Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze. Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa. Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.
- Yokaana 1:15-17
Day 17
"Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi. Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa. Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa.
- Matayo 5:5-7
Day 18
"Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu. Kubanga etteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfuula ow'eddembe okunzija mu tteeka ly'ekibi n'ery'okufa.
- Abaruumi 8:1-2
Day 19
"Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abagamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye: mufugenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.
- Olubereberye 1:28
Day 20
"Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe. Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
- Zabbuli 73:25-26
Day 21
"Tewali magezi newakubadde okutegeera Newakubadde okuteesa ku Mukama. Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo. Naye okuwangula kuva eri Mukama.
- Engero 21:30-31
Day 22
"N'abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n'emirembe gy'abaana bo giriba mingi. Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa: onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.
- Isaaya 54:13-14
Day 23
"Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo. Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama: Abawombeefu baliwulira, balisanyuka.
- Zabbuli 34:1-2
Day 24
"n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu-
- Matayo 18:3-4
Day 25
"(kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo); nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo;
- 2 Abakkolinso 10:4-5
Day 26
"Ayitawo ne yeeraliikirira olw'empaka ezitali zize Aliŋŋanga akwata embwa ku matu.
- Engero 26:17
Day 27
"Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga
- Yokaana 10:10-11
Day 28
"Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero : kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna. Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika.
- Okuva 14:13-14
Day 29
"Laba, nze mbatuma ng'endiga wakati mu misege: kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa.
- Matayo 10:16
Day 30
"Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga. Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.
- Zabbuli 19:13-14
Day 31
" Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.
- Matayo 5:11-12