[Today's date is January 21, 2025]

Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba. Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi.
- Zabbuli 74:16-17

Have a nice day! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd2/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.
- 2 Abakkolinso 3:17

Day 2
Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna.
- Isaaya 61:11

Day 3
Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso? Yesu n'addamu nti Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye.
- Yokaana 9:2-3

Day 4
Naye obulamu bwange sibulowooza nga kintu, nga bwa muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga enjiri ey'ekisa kya Katonda.
- Ebikolwa 20:24

Day 5
n'ayogera nti Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama ye yawa, era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.
- Yobu 1:21

Day 6
Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu? Oligolokoka ddi mu tulo two? Wakyaliwo okwebaka okutono n'okubongoota okutono, N'okufunya emikono okutono okwebaka: Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi, N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.
- Engero 6:9-11

Day 7
Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
- Zabbuli 119:89

Day 8
Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu. Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye.
- Yokaana 3:13-15

Day 9
Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutaggwaawo.
- Abaggalatiya 6:8

Day 10
Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga: mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.
- Okuva 34:21

Day 11
Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda. Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.
- Matayo 22:29-30

Day 12
Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.
- 1 Yokaana 2:11

Day 13
Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.
- Engero 13:24

Day 14
Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro:
- Lukka 3:16

Day 15
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebwa, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya. Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera eby'okwambala.
- Olubereberye 3:6-7

Day 16
Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala.
- Engero 16:19

Day 17
Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda.
- Matayo 23:8

Day 18
Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi.
- Olubereberye 12:10

Day 19
yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe: banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:
- Ebikolwa 17:26-27

Day 20
naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka, alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana. Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe.
- Abaggalatiya 4:4-6

Day 21
Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba. Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi.
- Zabbuli 74:16-17

Day 22
Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.
- Mikka 5:2

Day 23
Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe.
- Matayo 1:23

Day 24
Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, omwana wa Katonda.
- Lukka 1:35

Day 25
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe.
- Isaaya 9:6

Day 26
Buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka.
- Yakobo 1:17

Day 27
buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
- Abafiripi 2:10-11

Day 28
Laba aweereddwa omukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'ebitu byonna. Kubanga ye alumya era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze z'eziwonya.
- Yobu 5:17-18

Day 29
Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
- Yokaana 1:29

Day 30
Nkusabye ebigambo bibiri; Tonnyima nga sinnafa: Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga: Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.
- Engero 30:7-9

Day 31
Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
- Zabbuli 118:1