Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Olunaku olulungi! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd2/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Feb. 1
"Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna.
- Yokaana 12:32

Feb. 2
"Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli akyama olw'ebyo talina magezi.
- Engero 20:1

Feb. 3
"Temwogeranga nate bya kyejo kingi ekyenkanidde awo; Eby'amalala tebivanga mu kamwa kammwe: Kubanga Mukama Katonda wa kumanya, N'oyo ye apima ebikolwa.
- 1 Samwiri 2:3

Feb. 4
"Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.
- Isaaya 65:24

Feb. 5
"Amawanga gonna gali nga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy'ali nga si kintu ddala era nga kirerya.
- Isaaya 40:17

Feb. 6
"Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.
- 1 Abakkolinso 6:12

Feb. 7
" Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama.
- Isaaya 59:19

Feb. 8
"Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:
- Olubereberye 13:17

Feb. 9
"Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.
- Olubereberye 2:24

Feb. 10
"Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu.-
- Yokaana 1:12

Feb. 11
"Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula.
- Zabbuli 5:3

Feb. 12
"so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.
- Nekkemiya 8:10

Feb. 13
"Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
- Engero 3:5,6

Feb. 14
"Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.
- Matayo 22:37

Feb. 15
"Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti Lagira omuddu ayitemu atukulembere (n'ayitamu,) naye ggwe yimirira buyimirizi mu kiseera kino nkuwulize ekigambo kya Katonda.
- 1 Samwiri 9:27

Feb. 16
"Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.
- Zabbuli 119:130

Feb. 17
"Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna.
- Zabbuli 34:4

Feb. 18
"Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
- Zabbuli 34:10

Feb. 19
"Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira;
- Zabbuli 18:25

Feb. 20
"Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.
- Zabbuli 40:3

Feb. 21
"Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna: Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
- Engero 3:9,10

Feb. 22
"Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya : ku lunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama.
- 2 Bassekabaka 20:5

Feb. 23
"Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
- Abaruumi 10:17

Feb. 24
"Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.
- Abaebbulaniya 11:1

Feb. 25
"naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda, era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.
- Abaruumi 4:20, 21

Feb. 26
"Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
- Zabbuli 5:11

Feb. 27
"Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.
- Yakobo 4:8

Feb. 28
"era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.
- 1 Yokaana 3:22

/*February has 28 or 29 days*/

Feb. 29
"Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
- 1 Bassekabaka 17:16

Feb. 30
"Take heed what ye do: for ye judge not for man, but for the LORD, who is with you in the judgment.
- 2 Chronicles 19:6

Feb. 31
"I will speak of thy testimonies also before kings, and will not be ashamed.
- Zabbuli 119:46