Verse of the Day
[Copy and send from here:]
Verse of the day:
Have a nice day! 🙂
https://www.wordproject.org/bibles/votd/index_lug.htm
Verses of the month [Sample]
Nov. 1
"Ani alitwawukanya n'okwagala kwa Kristo? kulaba nnaku, oba kulumwa, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwereere, oba kabi, oba kitala?"
- Abaruumi 8:35
Nov. 2
"Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga."
- Yokaana 7:24
Nov. 3
"Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna."
- Zabbuli 73:26
Nov. 4
"okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi:"
- 1 Peetero 4:8
Nov. 5
"Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo."
- Engero 16:18
Nov. 6
"Nze mmumba omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna."
- Isaaya 45:7
Nov. 7
"mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli."
- 1 Abasessaloniika 5:18
Nov. 8
"Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'anoonya gw'anaalya."
- 1 Peetero 5:8
Nov. 9
"n'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu; bwe munaakyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyamiranga ku gwa kkono."
- Isaaya 30:21
Nov. 10
"Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye."
- Abaebbulaniya 13:15
Nov. 11
"Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali."
- Engero 22:15
Nov. 12
"Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga."
- Zabbuli 91:2
Nov. 13
" Si kubanga njogera olw'okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga."
- Abafiripi 4:11
Nov. 14
"Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda."
- Matayo 5:9
Nov. 15
"Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda."
- 1 Abakkolinso 10:31
Nov. 16
"Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala."
- Isaaya 30:15
Nov. 17
"Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange. -"
- Okubikkulirwa 3:20
Nov. 18
"Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa."
- Abaruumi 13:7
Nov. 19
"nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda."
- Abaebbulaniya 12:2
Nov. 20
"Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw'atyo, naffe kitugwanira okwagalananga."
- 1 Yokaana 4:11
Nov. 21
"N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu."
- Abafiripi 4:7
Nov. 22
"Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye."
- Zabbuli 37:23
Nov. 23
"Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga."
- Matayo 21:22
Nov. 24
"nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo:"
- Abakkolosaayi 3:13
Nov. 25
"Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza."
- 1 Abakkolinso 10:13
Nov. 26
"mugabenga, nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi, ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifuba. Kubanga ekigera ekyo kye mugera, nammwe kye muligererwa."
- Lukka 6:38
Nov. 27
"Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo."
- Yakobo 5:16
Nov. 28
"Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe."
- Engero 18:10
Nov. 29
"Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono."
- Abaebbulaniya 13:5
Nov. 30
"Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe."
- Abaruumi 8:18