Okusaba nga oweddemu essuubi



  • Zabbuli - Psalms 9:10 N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.

  • Zabbuli - Psalms 34:17 Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.

  • Zabbuli - Psalms 86:7 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu.

  • Zabbuli - Psalms 91:15 Alinkaabira, nange ndimuyita; Naabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.

  • Zabbuli - Psalms 145:18, 19 Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, n'amazima. Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; Era anaawuliranga okukaaba kwabwe anaabalokolanga.