Okubudaabuda [Okuzzibwamu amaanyi]



  • Zabbuli - Psalms 34:18 Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.

  • Zabbuli - Psalms 34:22 Mukama anunula emmeeme y'abaddu be: So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.

  • Zabbuli - Psalms 37:24 Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi: Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe.

  • Zabbuli - Psalms 71:20, 21 Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi. Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.

  • Zabbuli - Psalms 94:19 Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.

  • Zabbuli - Psalms 119:50 Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.

  • Zabbuli - Psalms 138:7 Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza; Oligolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo gulindokola.

  • Zabbuli - Psalms 142:3 Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange. Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego.

  • Isaaya - Isaiah 25:4 Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina hintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge.

  • Isaaya - Isaiah 41:10 totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.

  • Isaaya - Isaiah 41:17 Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.

  • Isaaya - Isaiah 41:18 Ndizibikula emigga ku nsozi ez'obweru n'ensulo wakati mu biwonvu: ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.

  • Isaaya - Isaiah 61:3 okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa, ye.

  • Okukungubaga - Lamentations 3:31-33Kubanga Mukama talisuula annaku zonna. Kuba newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa ng'olufulube lw'okusaasira kwe bwe luli. Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okuluma abaana b'abantu.

  • Abaruumi - Romans 8:28 Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi.

  • Abafiripi - Philippians 1:6 nga ntegeeredde ddala kino ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo:

  • 2 Timoseewo - 2 Timothy 2:12 oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe: