Lwana
- Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange, Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana. -Zabbuli Psalms 144:1
- Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza. -Matayo Matthew 16:18
- Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangulwa mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo, -2 Abakkolinso 2 Corinthians 2:14
- abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda: -Abaefeeso Ephesians 3:16
- Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. -1 Timoseewo 1 Timothy 6:12
- Bonaboneranga
wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. Siwali mulwanyi bw'atabaala
eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba
omulwanyi. -2 Timoseewo 2 Timothy
2:3, 4
- Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi. -1 Yokaana 1John 2:14
- Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. -Yuda 3